Psalms 29:3-9


3 aEddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 bEddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 cEddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 dAleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni
Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize
ng’ennyana y’embogo.
7Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 fEddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 gEddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Copyright information for LugEEEE